Skip to main content

Full text of "Universal Declaration of Human Rights"

See other formats


EKIWANDIIKO EKY'ABANTU BONNA EKIFA KU DDEMBE 
LY'OBUNTO 

EBYANJURA 

Ekitiibwa ky'omuntu eky'obutonde; okwenkanankana, wamu n'obuyinza 

obutayinza kugyibwawo ebyabantu bonna, gwe musingi gw'eddembe; 

obwenkanya n'emirennbe mu nsi. 

Obanga abantu sibakikozesa kujeema 'ngeky' okulwanyisa ekisembayo, 

okwetaasa obufuzi obukambwe okutulugunya, kyetaagisa eddembe ly'obuntu 

okuba nga lifugibwa amateeka. 

Ekibiina ky'amawanga amagatte, mu kiwandiiko kyakyo kikakasa nga 

bwekikkiririza mu ddembe ly'obuntu era ne mu kittibwa n'omuwendo gw'omuntu 

era kimaliridde okukubiriza abantu okugenda mu maaso n'okulwanyisa omutindo 

gw'embeera y'obulamu bwabwe mu ddembe erisingawo. 

Amawanga g'amemba geeyamye okukolaganira awamu n'ekibiina ky'Amawanga 

Amagattere mu kukubiriza abantu abali okussamu ekitiibwa n'okukuuma 

eddembe ly'obuntu n'emisingi gyalyo. 

Okutegeera obulungi obuyinza (rughts) n'eddembe ly'obuntu kikulu nnyo mu 

kutuukiriza obweyamo obwo mubujjuvu. 

Olwekyo, Olukiiko ttabamiruka (General Assembly) olw'amawanga Amagatte, 

iulangirira Ekirangiriro EKIFUGA EDDEMBE LY'ABANTU BONNA WONNA MU 

NSI. 

Abantu bonna abali wonna olw'okubeera ne'kiruubirirwa ekimu eky'amawanga 

gonna, basaanye bulljjo okujjukiranga EKIRANGIRIRO kino, wamu 

n'okulafuubana okuyigiriza, okugunjula n'okukubiriza abantu okussaamu 

ekitiibwa eddembe ly'obuntu, okutangaaza amateeka gaalyo n'okugakuuma, mu 

bantu abali mu bitundu ebiri mu buyinza bwabwe. 

Ekitundu 1. 



Abantu bazaalibwa nga balina eddembe n'obuyinza ebyenkanankana, 
batondebwa nga balina amagezi era nga basobola okwawula ekirungi n'ekibi 
bwebatyo, buli omu agwana okuyisa munne nga muganda we. 

Ekitundu 2. 

Buli muntu agwana afune eddembe eryo gerwako mu KIWANDIIKO kino awatali 
kusolola kwona okw'engeri yonna okuyinza okusinziira ku:- ggwanga, langi 
y'olususu okuba omusajja oba mukazi, olulimi, eddini endowooza ye ku 
by'obufuzi oba ekintu ekirala ensi oba abantu mwasibuka, ebintu byalina 
obuzaale bwe oba ensonga endala yonna. 

Ekitundu 3. 

Buli muntu ateekwa okubeerawo nga mulamu nga yegazaanya awatali 
kutaataganyizibwa mu ngeri yonna. 

Ekitundu 4. 

Tewali muntu assanidde kufugibwa buddu, obuddu n'obusuubuzi bw'abaddu 
tebukirizibwa mu nsi. 

Ekitundu 5. 

Tewali muntu asanidde, kutulugunnyizibwa okubonerezebwa oba okuyisibwa mu 
ngeri eteri ya buntu emutyoboola. 

Ekitundu 6. 

Buli muntu amateeka gateekwa okumubala era n'okumuyisa ng'omuntu buli 
wantu wonna. 

Ekitundu 7. 



Abantu bonna benkanankana mu maaso g'amateeka era bateekwa 
okukuumibwa amateeka awatali kusosola. Abantu bonna bateekwa kukumibwa 
kyenkanyi eh obusosoze obufutyanka EKIWANDIIKO kino oba obubawaliihzza 
okusosola mu ngeri eyo. 

Ekitundu 8. 

Buli muntu ateekwa okukkirizibwa okutwala ensonga ze mu mbuga entuufu 
ez'eggwanga zikolebweko singa nga eddembe lyerimuweebwa mu Constitution 
ne mu mateeka liba lijolongeddwa. 

Ekitundu 9. 

Tewali muntu anakwatibwanga oba okusibibwanga oba okusibibwa oba 
okuwangangusibwa mu ngeri etegoberera mateeka. 

Ekitundu 10. 

Buli muntu awatali kusosola, ateekwa okuwozesebwa mu Iwatu ate mu 
bwenkanya mu kooti eyeemala era eterina kyekubira, bwabanga annonya 
okukakasa onuyinza obumuweebwa mu mateeka singa waliwo omusango 
ogumenya amateeka ogumuvunaanibwa. 

Ekitundu 11. 

1 . Buli muntu yenna avunaanibwa omusango oguliko ekibonerezo ateekwa 
okubalibwa nga taliiko musango okutuusa nga kikakaslbbwanti ddala 
yaguzza okusinziira mu mateeka era ateekwa okuwozesebwa mu kooti 
mu Iwatu nga aweereddwa na buli mukisa gwonna okwetaasa. 

2. Tewali muntu n'omu anabalibwanga nga azzizza omusango 
ogumubonerezesa, kino nga kisinzira kukikolwa kye yakola oba kyatakola, 
mu kiseera ekyemabega, kyokka nga mu kiseera ekyo ekikolwa kyeyakola 
oba kyeyalemwa okukola kyali tekittekwa kumubonerezesa, okusinziira 



mu mateeka g'eggwanga eryo oba ag'amawanga amalala Bwanabanga 
ateekwa okubonerezebwa mu kiseera weyazziza omusango ogwo. 

Ekitundu 12. 

Eddembe ly'omuntu yenna eyo gyabera amaka ge era n'ebbaluwa ze 
tebitaataganyizzibwe nga oba okwazibwa mu ngeri etegoberera mateeka, so 
n'erinnya lye teriweebuulwenga oba okulebulwa. Buli muntu ateekwa 
okukuumibwa amateeka aleme kutaataaganyizibwa oba okulumbibwa mu ngeri 
eyo. 

Ekitundu 13. 

1 . Buli muntu alina eddembe okugenda oba okusula wonna wayagala, 
munda w'ensalo ez'eggwanga lye. 

2. Buli muntu wa ddembe okufuluma okuva mu ggwanga lyona, kino nga 
kitwaliramu n'eggwanga lye, wamu n'okudda mu ggwanga lye. 

Ekitundu 14. 

Omuntu ayigganylzibwa waddembe okunoonya obubudamo mu ggwanga eddala 
era n'okusanyukira mu bubudamo obwo. 

Ekitundu 15. 

1 . Buli muntu ateekwa okufuna eggwanga ettongole gyabalirwa 
ng'omutuuze. 

2. Tewali muntu yenna anagyibwangako obutuuza bw'eggwanga lye wadde 
okugaanibwa okukyusa obutuuze bwe okubugya mu ggwanga erimu 
okubuuza mu ddala. 

Ekitundu 16. 



1 . Omusajja oba omukazi omukulu atuuse okwesalirawo, taakomerwenga 
mu ngeri yenna obutawasa oba okufumbirirwa n'okuzaala abaana, 
olw'olulyo mwasibuka, olw'eggwanga lye oba Iwe'eddini ye. Omusajja 
n'Omukazi balina onuyinza n'eddembe ebyenkanankana nga 
tebannafumbiriganwa, oba nga bafumbiriganiddwa oba oluvannyuma 
Iw'obufumbo bwabwe okusattululwa. 

2. Amaka gwe musingi gw'eggwanga ogw'obuwangwa olwekyo abantu ne 
gavumenti basaanye okugakuuma obutiribiri. 

Eitundu 17. 

1 . Buli muntu waddembe okwefunira ebintu bye kululwe oba nga yeetabye 
ne n'abantu abalala. 

2. Tewali muntu yenna anaggyibwangako ebintu bye mu ngeri etagoberera 
matteka. 

Ekitundu 18. 

Buli muntu alina eddembe ery'okwerowooleza okwawula ekirungi n'ekibi 
n'okulondawo eddini gyanasoma. Eddembe lino lizingiramu obuyinza okukyusa 
eddini oba enzikiriza ye, n'obuyinza obubwe ku lulwe oba wamu n'abantu 
abalala, mu Iwatu oba mu kyama, okwolesa eddini oba enzikiriza ye, ngayigiriza 
oba ngateeka mu nkola eddini ye byemulagira, nga asinza oba ngakuuma 
byemugamba. 

Ekitundu 19. 

Buli muntu wa ddembe okubeera n'endowooza ye era n'okwogera oba 
okuwandiika nga bwalowooza. Eddembe lino lizingiramu n'ebeetu 
ery'okugugubira ku ndowooza ye awatali kitaattaagaayizibwa, okusaka okufuna 
wamu n'okusaasaanya amawulire n'ebirowoozo okuyita mu mikutu gyonnna 
watali kukomerwa. 



Ekitundu 20. 

1. Bull muntu ayinza okwetaba mu nkugaana ez'eddembe wamu n'abantu 
abalala. 

2. Tewali n'omu anakakibwanga okwetaba mu nkunganaa awamu n'abantu 
abalala. 

Ekitundu 21. 

1 . Buli muntu waddembe okwetaba mu nfuga y'eggwenga lye. 

2. Buli muntu allna obuyinza obwenkanankana n'obw'omulala 
obumusobozesa okutuukirira ebitongole bya gavumenti y'ensi ye 
ebiweereza abantu bonna awatali kukugirwa. 

Ekitundu 22. 

Buli muntu wa ggwanga alina obuyinza okutuula ne bantu banne ngatebenkedde 
mu ddembe. Kino kimusobozese okutuuka ku biruubirirwa eby'ekitiibwa 
by'obuntun'okulongongoosa empisa ze, okuyita mu kukola kw'eggwanga lye oba 
okukolagana n'awamanga nga amalala, okusinziira ku nteekateeka n'enkozesa 
'obugagga bwe'eggwanga mu by'enfuna, ey'embeera z'abantu n'eby'obuwangwa 
ebitayinza kwewalika mu kukulakulana kuno. 

Ekitundu 23. 

1 . Buli muntu alina eddembe n'obuyinza okukola. Ateekwa okwerondera 
ekika ky'omulimu ekimuggyamu era ekirina embeera emusobozesa 
okukola obulungi, wamu n'okukirizibwa oba okuyambibwa singa omulimu 
ogwo gumuweddeko. 

2. Buli mukozi ateekwa okussasulwa empeera entuufu emuggyamu, 
emusobozesa ye yennyini n'abantu ab'amaka ge okweyimirizawo nga 
abantu balamu. Bwekiba kyetagisa empeera y'omukozi eyinza 



okwongerezebwako ensako endala ezimusobozesa okwetaasa ebyo 
ebimugwako ng'omuntu nga tabyetegekedde. 

Ekitundu 24. 

Buli muntu ateekwa okuwummula n'okuweera. Asaana akole essawa zakigero 
buli lunaku era abeere n'ekiseera eky'okwewummuzaamu buli mwaka, kyokka 
nga empeera ye ey'ekiseera ekyo emuweebwa. 

Ekitundu 25. 

1 . Buli muntu ateekwa okubeera n'omutindo gw'obulamu ogumusobozesa 
okubeerawo nga mulamu bulungi mu mubiri , ye yennyini n'abantu 
abamakage, ng'afuna emmere, ebyambalo, ennyumba n'okujjanjabwa 
singa alwadde era nga asobola okweyambisa ebyo gavumenti 
y'eggwanga lye by'ekolera abantu baayo okusitula embeera y'obulamu 
bwabe. (Social Services). Buli nnuntu, asaana okuyambibwa aleme 
kweralikirira bwaba nga omulimu gumuweddeko, oba afuuse kateyaamba 
oba afuuse Ssennwandu oba Nnannwandu oba ngatuusibbwa mu mbeera 
etemusobozesa kufuna nsiimbi kyokka nga kino siyakyeretedde yekka. 

2. Abakyala abazadde wamu n'abaana bateekwa okulabirirwa 
n'okuyambibwa mu ngeri ey'enjawulo. Abaana bonna oba bazadde 
baabwe bafumbo mu mateeka oba si bafumbo bagwana okulabirirwa 
kyenkanyi nga abantu. 

Ekitundu 26. 

1. Buli muntu ateekwa okuyigirizibwa. Okuyigizibwa kunabanga kwa bwerere 
mu myaka egisooka ne mu masomero agasookerwamu. Okuyigirizibwa 
okusookerwako kunabanga kwa buwaze. Amasomero agayigiriza 
eby'emikonono n'emirimu egy'ekikugu ganaateekebwangawo, era buli 



muntu alina ebisannizo n'obusobozi anaweebwanga omukisa okusomera 
mu magunjukiro agawaggulu. 
2. Ebyenjigiliza binaluubiriranga okugunjula abantu muby'amagezi n'empisa 
nga biteeka essira ku kusaamu ekitiibwa eddembe ly'obuntu n'emisingi 
gyalyo. Binakubirizanga okuteegeeragana okw'abantu ab'ensi n'eddini 
ez'enjawulo; era binakolaganiranga wamu n'ekibiina ky'Amawanga 
Amagatte mu kuleetawo emirembe mu baantu. 

Ekitundu 27. 

1 . Buli muntu waddembe okwetaba mu by'obuwangwa ebyensiye era 
n'okusanyukira ebikolebwa abalina amagezi oba ebitone ebyobuwangwa, 
n'okugabana ku miganyulo egivudde mukukulakulana kwa sayansi. 

2. Buli muntu agwanidde okutaasibwa okuva mu kabi akayinza okutuuka ku 
mpisa ze oba kwebyo ebimusanyusa mu nsi, kino nga kisinziira ku magezi 
aga sayansi ebitabo ebibi oba ebifaananyi eby'ekigwenyufu ebiba 
bikoledwa abaantu. 

Ekitundu 28. 

Embeera y'abantu ab'eggwanga lye oba ab'omumawanga amalala ng'esobozesa 
omuntu okufuna eddembe ly'obuntu nga bwe liwandiikiddwa mu KIRAGIRO kino. 

Ekitundu 29. 

1. Buli muntu alina obuvunanyizibwa eri abantu b'ensi ye, kubanga bano 
bokka abamusobozesa okukikukulanya mumpisa ne mungeri endala 
zonna. 

2. Omuntu nga akaayanira eddembe lye ery'obuntu ekinamukolangako 
kyokka ge mateeka ago agateekebwawo okunyweza, okutongoza wamu 
n'okusaamu ekitiibwa eddembe ly'abalala n'okukuuma empisa ennungi mu 
bwenkanya oba okukuuma eddembe lya bonna oba amateeka ago 



ogakuuma obulungi bwa abantu bonna ab'eggwanga eriddukanyizibwa ku 
demokolasi. 

Ekitundu 30. 

Tewali nsonga yonna mu KIRANGIRIRO kino enetapoutibwanga mu ngeri 
etegeeza nti ewa ebbeetu abantu b'eggwanga oba ekibinja ky' abantu 
okwenyigira oba okwetaba mu kikolwa kyonna ekigenderera okuzikiriza 
eddembe ly'obuntu eriwandiikiddwa mu KIRANGIRIRO kino.